Job 9

Yobu Ayanukula

1Yobu n’alyoka addamu nti,

2 a“Ddala nkimanyi nga kino kituufu.
Naye omuntu asobola atya okuba omutuukirivu eri Katonda?
3 bWadde ng’omuntu yandyagadde okuwakana naye,
tayinza kumuddamu kibuuzo na kimu ku bibuuzo olukumi.
4 cAmagezi ge ga nsusso, amaanyi ge mangi nnyo;
ani eyali amuwakanyizza n’avaayo nga taliiko binuubule?
5 dAsimbula ensozi ne zivaayo nga tezimanyiridde
era n’azivuunika ng’asunguwadde.
6 eEnsi aginyeenya n’eva mu kifo kyayo
era n’akankanya empagi zaayo.
7 fAyogera eri enjuba ne teyaka,
akugira n’alemesa ekitangaala ky’emmunyeenye okulabika.
8 gYe yekka abamba eggulu
era n’atambulira ku mayengo g’ennyanja.
9 hYe mukozi wa Nabaliyo, entungalugoye ne Kakaaga,
n’ebibinja eby’emunyeenye eby’obukiikaddyo.
10 iAkola ebyewuunyo ebizibu okunnyonnyola,
n’akola n’ebyamagero ebitabalika.
11 jBw’ayita we ndi sisobola kumulaba,
bw’ampitako, sisobola kumutegeera.
12 kBw’aba alina ky’aggya ku muntu, ani ayinza okumuziyiza?
Ani ayinza okumubuuza nti kiki ky’okola?
13 lKatonda taziyiza busungu bwe;
n’ebibinja bya Lakabu byakankanira wansi w’ebigere bye.
14Kaakano nnyinza ntya okuwakana naye?
Nnyinza ntya okufuna ebigambo mpakane naye?
15 mWadde nga siriiko musango, sisobola kubaako kye muddamu,
mba nnyinza kwegayirira bwegayirizi oyo Omulamuzi wange ankwatirwe ekisa.
16Ne bwe na ndimukoowodde n’ampitaba,
sirowooza nti yandimpadde ekiseera n’ampuliriza.
17 nYandimenyeemenye mu muyaga
nannyongerako ebiwundu awatali nsonga.
18 oTeyandindese kuddamu mukka
naye yandimmaliddewo ddala nga mbonaabona.
19Bwe kiba nga kigambo kya maanyi bwanyi, ye wa maanyi.
Era bwe kiba kya kusala musango, ani alimuyita?
20Ne bwe sandibaddeko musango, akamwa kange kandigunsalidde.
Ne bwe bandinnangiridde nti siriiko kyakunenyezebwa, kandirangiridde nti gunsinze.

21 p“Wadde nga sirina kyakunenyezebwa,
sikyefaako,
obulamu bwange mbunyooma.
22 qByonna kye kimu, kyenva ŋŋamba nti,
Azikiriza bonna abataliiko musango awamu n’abakozi b’ebibi.
23 rKawumpuli bw’aba asse mbagirawo,
Mukama asekerera okubonaabona kw’abatalina musango.
24 sEnsi yaweebwayo mu mukono gw’abakozi b’ebibi.
Abikka ku maaso g’abagiramula.
Bw’aba nga si Mukama, kale ani?
25 tKaakano ennaku zange zidduka okusinga omuddusi,
zifuumuuka, tezirina kalungi ke ziraba.
26 uZifuumuuka ng’amaato ag’ebitoogo
Amaato ag’ebitoogo gaakolebwanga mu Misiri
agadduka ennyo,
ng’empungu eyanguyiriza okugenda eri omuyiggo.
27 wBwe ŋŋamba nti, Leka neerabire okusinda kwange,
oba nti neerabire obunyiikaavu bwange, nsekemu,
28 xne neekokkola okubonaabona kwange,
mmanyi nga Mukama tombale ng’ataliiko musango.
29 yOmusango gunsinze,
lwaki nteganira obwereere?
30 zNe bwe nandinaabye sabbuuni
n’engalo zange ne nzitukuza,
31era wandinsudde mu kinnya,
n’engoye zange zennyini ne zinneetamwa.
32 aaKubanga Mukama si muntu nga nze bwe ndi nti muddemu,
era nti tusisinkane tuwozaŋŋanye mu mbuga z’amateeka.
33 abTewali mutabaganya
ayinza kututeekako mukono gwe ffembi,
34 aceyandizigyeko omuggo gwa Katonda
entiisa ye n’erekeraawo okunzijira.
35 adOlwo nno nandyogedde nga simutya;
naye nga bwe kiri kaakano, sisobola.”
Copyright information for LugEEEE